Bagyenda yabba ebiwandiiko bya bbanka enkulu

Akulira eby’okwerinda mu Bbanka enkulu Opio Tito alumirizza eyali akulira okulondoola Bbanka ez’obyobusubuzi Justine Bagyenda okubba ebyama bya Bbanka enkulu.
Opio agamba nti CCTV camera za Bbanka zakwata Ddereeva wamu n’omukuumi wa Bagyenda nga 11-02-2018 nga babba ebiwandiiko bino okuva mu Bbanka enkulu. Ono yagambye nti oluvannyuma lw’okuwulira nti ebiwandiiko bino byali tebirabibwako yagenda ne banne nabaddamu okwetegereza entambi ezakwatibwa CCTV Camera zino era nabalaba abantu bano nga batikka ensawo 3 ezaali zijjudde ebiwandiiko mu motoka.
Wabula oluvannyuma Bagyenda yazza ensawo 2 zokka era bweyabuzibwa nategeeza nga bwezalimu ebintu bye byayagula emitala w’amayanja gyeyali yakava.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Omuka akwatiddwa nga akukusa ebiragalalagala