Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi mu Kampala ekutte 331

November 27, 2018 · Mubiru Ali

 

Poliisi mu kutuukiriza ekiragiro kya President Museveni nga eyita mu kikwekweto kyetuumye ‘Tokoora Operation’ ekutte abantu abasoba mu 331 nga bano kigambibwa benyigira mu kubba Bannakampala mu bitundu bya Kampala n’emiriraano. Bano bakwatiddwa mu bitundu omuli; Kisenyi, Nakivubo, Makindye, Kawala, Kibuli, Kibuye, Salaama, Katwe ne Kasubi.

Ab’ebitongole bebyokwerinda bazudde ebintu eby’enjawulo ebyeyambisibwa abantu bano omuli ebikozesebwa okumenya amayumba n’ebiragalalagala. Bangi ku bakwatiddwa basangiddwa ne form za Poliisi bond, empapula za Kkooti eza bond wamu n’ebbaluwa z’amakomera kwebabateera.

Bano bakuumirwa ku Poliisi za Kampala n’emiriraano okuli; Central Police Station Kampala, Jinja Road Police Station, Natete Police Station, Katwe Police Station, Wandegeya Police Station n’e Kabalagala Police Station nga bwebalindirira okutwalibwa mu kkooti.