Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 45 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Abattemula omusuubuzi e Najjeera basindikiddwa kwa alimanda

November 28, 2018 · Mubiru Ali

Abavubuka babiri abakwatibwa kubigambibwa nti bandiba nga bebatemula omusuubuzi Archie Rwego e Najjeera ku kyalo Mukutugumu basindikiddwa ku alimanda e Luzira.

Johnson Kisuule aka Mohammed Kisaakye Johnny (22), Abdul Luyombo (24) basimbiddwa my maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Kira. Bano babuuka ekikomera nebayingira nebafumita Archie ebiso nebabba TV wamu n’emitwalo asatu.

John Kisuule yakwatibwa oluvannyuma lw’okumusanga n’ebiwundu mu ngalo wamu nenkwagulo mu bulago.

Abdul Luyombo yakwatibwa Magamaga e Jjaja we gyeyali yekwese nga alindirira okwolekera e Mayuge gyebamugamba nti waliyo omusawo eyali ow’okusiba omusango ggwe. Ye munaabwe amannyiddwa nga Papa yadduka era anoonyezebwa.