Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 45 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Mulamuzi twetaaga okuwuliriza ku nnyimba Isiko zeyakozesa – Munnamateeka wa Isiko

November 28, 2018 · Mubiru Ali

Munnamateeka wa Brian Isiko avunaanibwa ogw’okukaka Omubaka wa Kabarole Omukyala Sylivia Rwabwogo okumwagala yalemereddwa okubuuza omubaka ebibuuzo olw’okuba yabadde talina Disc Player kuzannya nnyimba Isiko mweyafunanga obugambo bw’omukwano bweyasindikira nga omubaka.
Waiswa nga ye Munnamateeka wa Isiko asabye omulamuzi w’eddaala erisooka Stella Amabirisi okubafunira Disk Player basobole okuwulira ennyimba zino mu Kkooti. Era Waiswa yayongeddeko nti omulamuzi agobe omusango guno kuba Isiko ebigambo yabikoppa mu nnyimba z’abayimbi abamaanyi munsi yonna Don Williams, Iglesias Enrique ne Akon nga era asuubira tebirina bulabe bwonna. Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga 12-December-2018.