Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Tusaanye tujjukire ab’e Kasese

November 29, 2018 · Mubiru Ali

Bobi Wine: Nga bwebagamba nti tuseka ku ngulu naye emitima tegyerabira, tujjukira Bannayuganda abasoba mu 150 abattibwa e Kasese nga 26 ne 27 November 2016. Emyaka ebiri nga giyiseewo tewanabaawo bwenkanya eri abo abttibwa. Nga ebikangabwa ebirala ebizze bigwawo mu nsi yaffe, Gavumenti eyagala tukyerabire twefuule nti tewali kyabaawo Wabula emikwano wamu n’abenganda bawangaala n’obulumi buno ku mitima gyabwe.
Ndi wamu n’abantu b’e Kasese wamu n’Ababaka baabwe okuli mikwano gyange Hon. Winnie Kiiza, Hon. Robert Centenary, Hon.Godfrey Atkins Katusabe ne Hon. William Nzoghu nga bwetugenda mu maaso n’okusaba Gavumenti okutuwa ebyokudibwamu wamu n’okuwa abo abakwatibwa obwenkanya.