Atiku Shaban eyalumizibwa mu Arua ne Bobi Wine atwaliddwa Nairobi

Omukulembeze wa National Unity Platform NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Mu August 2018 amaggye gatulumba mu Arua, era omu ku balumizibwa mu bulumbaganyi buno ye Atiku Shaban. Abasirikale bamusamba mu mugongo emirundi egiwera abalala nebamubuukirabuukira ku mugongo n’egatto zaabwe.
Okuva olwo, tumututte mu basawo ab’enajwulo mu Yuganda naye embeera egaanyi okutereera. Ono yasanyalala ekitundu ekimu nga takyasobola kwetambuza.
Wiiki 3 eziyise embeera ye yaddamu okutabuka netumuleeta e Kampala omulundi omulala. Ttiimu yaffe yamutwala mu bakugu (neurosurgeons) bamukebere era oluvannyuma nebatutegeeza nti alina okutwalibwa mu Aga Khan University Hospital, Nairobi afune obujanjabi obusingawo.
Olunaku lw’eggulo twasobodde okumutwala ku nnyonyi n’omujanjabi we e Nairobi, era olwaleero atwaliddwa okulaba abasawo batandike okumujanjaba.
Ndi musanyu nti abakulembeze ku kitebe babadde bamukeberako. Weebale nnyo ANDY Opingopi LIVE olwokubeererawo muganda waffe ono. Nsiima nnyo mikwano gyaffe abagenze mu maaso nga bakebera ku baganda baffe abalumizibwa wamu ne famire zaabo abali mu makomera. Kuno kwekusasulwa kwetufuna mubutakiririza mu busibira mubbwa wabula bino byonna bijja kugwera mu buwanguzi bwa Bannayuganda.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply