Palamenti egobye okusaba kwa UPDF okwobuwumbi 138 nga zino zibadde zakweyambisibwa mu kulondoola kalulu ka 2026. Palamenti etegeezezza abakulu nti guno mulimu gwa Uganda Police Force era nebabagamba nti bwewanabaawo ensimbi zonna nga zakukola kino zakuweebwa Poliisi.
UPDF etegeezezza nti ssente zino zakukozesebwa mu bikwekweto nti amaggye gakuwa n’Ababaka bennyini abagoba ssente zino obukuumi, wabula kino Ababaka bakiwakanyizza nga bagamba nti olwo akalulu kajja kuba kafuuse kirala.
Parliament rejected a request by the UPDF for Shs138Bn to monitor the 2026 general elections arguing that elections monitoring falls within mandate of Uganda Police Force and recommended to have any funds allocated to the Army for this activity to be channeled towards Police.
The UPDF defended the expenditure arguing that the funds will be used for operation and the Army will offer protection to MPs as they are on trail, but some MPs rejected the request over fears that such a move would lead to the militarizing of elections.