Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force ASP Nabakka Claire avuddeyo ku katambi k’obubbi akabadde katambuzibwa ku Social Media; “Akatambi akatambuzibwa ku social media akabasajja 5 nga balumba abagoba b’ebidduka mu bitaala nti byabadde ku John Babiiha Avenue si bituufu.
Akatambi kano ka mu Ggwanga lya Botswana nga katereeddwayo Botswana Police Service. Nsaba abantu abakozesa social media okusooka nga okwekeneenya byebateekayo nga tebanasasamaza bantu. Tubasuubiza okubakuuma n’ebyammwe.”