Akakiiko ka Anti Corruption Unit kakutte Omumbejja

Akakiiko akalwanyisa enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda kavuddeyo nekategeeza nga bwekakutte Omumbejja Naalinnya Bwanga nga kigambibwa nti abadde yeyita kyatali nti mukozi w’Akakiiko kano.
Ono yakwatiddwa olunaku lweggulo nasula mu kaduukulu ka Uganda Police Force e Kikyuusa mu Luweero gyagiddwa enkya yaleero naleetebwa ku Central Police Station mu Kampala okwogera okumubuuza akana nakataano. Ono okukwatibwa kidiridde abantu okwekubira enduulu ku bubbi bw’ettaka, okutulugunya wamu n’okukwata abantu ababeera bannanyini bettaka eribeera likayanirwa.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply