AGAMBIBWA OKUGEMA ABANTU NE DDAGALA ENJIGIRIRE ANOONYEZEBWA

 
Akakiiko ka State House Health Monitoring Unit kavuddeyo nekategheeza nga bwekayigga omusawo Francis Baguma agambibwa okubeera emabega w’okukuba abantu eddaggal erigema ekirwadde kya #COVID-19 abasoba mu 800 egingirire.
Kigambibwa nti ono abadde ajja ku bantu ssente eziri wakati w’emitwalo 10 na 20.
Basaba oyo yenna ayinza okumanya waali okukuba 0703492696/0772354679 (WhatsApp).
Dr. Wallen Namara, akulira akakiiko ka State House Health Monitoring Unit, agamba nti ono yandiba nga yatomeza abantu abawerako saako amakampuni mu Kampala n’emiriraano.
Abamu ku bagambibwa okukubibwa eddagala lino kigambibwa nti baafa. Namara agamba nti bano balabika babba obuccupa nebabuteekamu amazzi gebabadde nga bakuba abantu.
Kigambibwa nti Baguma kino yakikola wakati wa May 15 ne June 17.
Abakessi okuva mu State House bakwata abasawo babiri e Nakawa mu Kampala nga bebagambibwa okukuba abantu eddagala lino ejingirire. Bano bwebakwatiddwa bategeezezza nti eddagala babadde balifuna okuva ku Dr. Baguma eyadduse.
Bano basangiddwa ne sitampu za Kampala Capital City Authority – KCCA ne Kiswa Health Centre, kkaadi 150 ezokugema, bwebatambuliza eddagala wamu ne ddoozi 90. Babadde ne absorbent cotton, medical examination gloves nekitabo mwebabadde bawandiika abantu okuva mu Kkampuni ezenjawulo bebagemye.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply