
Agabibwa okutta baganzi be 2 e Kabale akwatiddwa
Uganda Police Force e Kabale ekutte Denis Arinaitwe agambibwa okukuba amasasi mukyala we gwalinamu omwana nga yali offiisa wa Poliisi Caroline Komugisha agaamuttirawo oluvannyuma lw’okufunamu obuttakkaanya.
Kigambibwa nti era Arinaitwe aguddwako omusango omulala ogw’okutta omwagalwa we omulala Sarah Naturinda ow’emyaka 20 ng’abadde muyizi mu mwaka ogw’okubiri ku Yunivaasite e Kabale nga omulambo gwe gwasangiddwa mu kazigo mwabadde asula. Poliisi egamba omukwate ali mu mikono gyayo era yaweereddwa ekitanda mu ddwaliro ekkulu e Kabale oluvannyuma lw’okwetuusako ebisago bweyali akuba mukyala we amasasi.