Abazadde b’omwana eyakubwa amasasi, aba UPDF babalekera 6000 kababeezeewo

Famire y’omwana ow’emyaka 8 eyakubwa amasasi 2 abebyokwerinda bwebaali bakola ekikwekweto mu Kampala eyagala kuliyirirwa n’obwenkanya.
Christine Ainembabazi, ng’atunda mmanda mu Namere zone e Kawempe, mu Kampala tasobola kwerabira lunaku lwa 9 January 2022, omwana we ow’emyaka 8 Ibrahim Kiddawalime bweyakubwa amasasi 2 ku kugulu ne mu lubuto abasirikale abaali balina gwebagoba okukwata.
Kiddawalime akyafuna bujanjabi okuva ku St. Stephens’s hospital e Mpereerwe, yakubwa amasasi 2 mu kugulu n’olubuto bweyali azannya ne baana banne wabweru w’ekibanda kya Maama we eky’amanda.
Maama we yenna nga n’amaziga gamuyitamu yategeezezza Radio Simba, nti ku lunaku olwo abasirikale abakuba mutabani we amasasi nga bagoba omumenyi w’amateeka olwamala okukuba omwana we amasasi tebayimirira.
Nti wabula nga 11-January-2022, abasirikale ba UPDF bajja mu Ddwaliro nebakiriza nti ddala balumya omwana ono mu butanwa nebeyama okusasula ebisale by’eddwaliro ezitanaggwayo.
Ainembabazi agamba nti amaggye gakomyeewo negasasula ekitundu ku ssente z’eddwaliro obukadde 10 wabula nga eddwaliro likyagaanyi okumulongoosa omulundi ogwokubiri nga tebanamalayo ssente.
Ainembabazi ne bba Abdulla Kimulu eyasuulawo omulimu gwokuvuga takisi ajanjabe omwana we bagamba nti ngogyeeko okusasula ekitundu ku ssente z’eddwaliro kyabaggwako abasirikale bwebabawaayo nnusu 6,000/= kabayambeko.
Bano basaba eggye lya UPDF okubaliyirira olwomwana waabwe alabika nga obulamu bwe tebugenda kusigala kyekimu.
Kimulu ayagala bakwate era bavunaane omusirikale oyo omulagajjavu eyakuba omwana we amasasi eritali limu kumpi kubula kusaanyaawo bulamu bwe.
Twagezezaako okwogerako n’omwogezi w’eggye lya UPDF (UPDF Spokesperson) Brig. Gen. Felix Kulaigye wabula byonna byagudde butaka. Wabula ye omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire yategeezezza nga bwebakyanoonyereza ku nsonga eno ne Poliisi y’e Kawempe.
Bya James Kamali

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo.

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo. ...

39 2 instagram icon
🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati 
#RadioSimba973
#suremanssegawa

🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati
#RadioSimba973
#suremanssegawa
...

13 0 instagram icon
Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n'abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n`abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. ...

27 0 instagram icon
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police  Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James
...

23 1 instagram icon
Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza!

Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza! ...

28 3 instagram icon
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among ayimirizza entuula za Palamenti zonna okutuusa nga 30 July 2024.

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among ayimirizza entuula za Palamenti zonna okutuusa nga 30 July 2024. ...

35 1 instagram icon