Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister; “Oluvannyuma lw’abatuuze okuvaayo nebekubira enduulu ku nsonga z’oluguudo olwakakolebwa oluweza kiromita 95 olwa Buhimba-Kakumiro nga ndi wamu n’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byentambula, wamu n’abakungu okuva mu Uganda National Roads Authority – UNRA wamu n’abakulembeze abalala twalambudde abatuuze era ensonga nnyingi zebatubuulidde omuli; okulwawo okuliyirirwa, okuliyirirwa ensimbi ezitenkana bintu byabwe, okuziba enguudo ezikyaama ewaabwe. Okukolebwa kw’enguudo tekulina okunyigiriza batuuze.”
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.