Abatuuze e Gombe bekalakaasizza lwa nguudo mbi

Abatuuze ku byalo 3; Kitanda, Kiteredde ne Ttikkalu mu Gombe division, Nansana Municipality, Wakiso bakedde kwekalakaasa nga balaga obutali bumativu bwabwe olw’embeera oluguudo lwabwe oluva ku kitebe kya division okutuuka e Bombo ku 19 eyungula amaziga.
Bano nga bakulembeddwamu ba Councillors baabwe abakikirira omuluka guno Ttikalu ku Gombe division ne ku Nansana municipality, batandise okusimba ebitooke, emiti gya muwogo n’okusuula emisanvu mu kubo lino nga tebaganya muntu yenna kuyitawo.Bano bagamba nti ekubo lino lijjudde ebinnya ekiviiriddeko obubenje okweyongera kyoka nga bazze nga beekubira enduulu eri bekikwatako wabula nga beesulirayo gwannagamba.
Ye Mayor wa Gombe division Nsereko Ssebuliba asabye abatuuze okuba abakkakamu kuba oluguudo lugenda kukolebwa era nga enteekateeka zawedde dda.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

32 2 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

5 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

4 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon