Abasirikale betegefu okukuuma Bannayuganda mu naku enkulu – CP Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwetegese basajja baayo okwaŋŋanga omuntu yenna ateekateeka okukozesa akaseera kano ak’enaku enkulu n’okumalako omwaka, okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka obw’engeri zonna. Ono agamba nti tebajja kulonzalonza bakubakwata bavunaanibwe.
Enanga ayongeddeko nti teri musirikale wa Poliisi yenna agenda kugenda mu luwummula mu ggandaalo lino ery’enaku enkulu nakakasa nti abasirikale bonna abasoba mu mitwalo 4 bagenda kubeera ku mirimu nga bakuuma Bannayuganda
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply