Abasimi ba zzaabu abaagobwa e Mubende batwala Gavumenti mu kkooti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abasimi ba zzaabu abasoba mu 200 Gavumenti beyali yawa olukusa okukola omulimo guno balabudde nti bagenda kugikuba mu mbuga z'amateeka olw'okubagoba mu bukyamu.

Senkusu Edward , George Basimaza ,Gasasira Augustine, Mutumba Stephen ne Mukwaya Yusufu abakulembeddemu bannaabwe nga  beegattira mu kibiina kya Kitumbi Kayonza Miners Association ekisangibwa mu Disitulikiti  y'e Mubende era nga bano baagobwa mu kirombe kye Lubaali.

Senkusu Edward anyonyodde nti Gavumenti  nga eyita mu Minisitule y'e byobugagga ebyomuttaka baabawa olukusa okwenyigira mu mulimo gw'okusima zzaabu e Mubende naye beewuunya okulaba nga babagobayo awatali kusooka ku baliyirira nga ne gyebuli kati tebalina mulimo gwonna gwebakola . 

 

Share.

Leave A Reply