Abasawo muddeeyo mukole tugenda kubasasula – Ainebyona

Abasawo abali mu kutendekebwa batadde wansi ebikola nga entabwe evudde ku butasasulwa musaala kati ebbanga lya myezi 2. Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Ronald Mutebi bagamba sibakuddamu kukwata ku mulwadde yenna okutuusa nga basasuddwa ssente zebabanja.
Wabula akulira eby’amawulire mu Ministry of Health- Uganda, Emmanuel Ainebyona ategeezezza nti okutandika n’olwaleero bano bagenda kutandika okufuna ssente zaabwe nga tewali nsonga ebeediimisa wakati nga Eggwanga likyalwanagana n’ekirwadde kya Ebola.

Add Your Comment