ABANTU BABI NNYO; GEN. KAYIHURA AKUKULUMIDDE BEYAKOLANGA NABO

https://youtu.be/BIkbdb3iXSM
Eyaliko omuduumizi wa Uganda Police Force General Edward Kale Kayihura yavuddeyo nategeeza talirya oba tagezangako kulya mu nsi ye lukwe oba Bannayuganda. Yategeezezza nti tabeerangako muli wankwe wabula waliwo abantu beyali akola nabo abamulyamu olukwe nebamusalako ebigambo okumusuula. Yagambye nti kino kimuyigiriza bingi naddala emyaka 3 gyamaze ngatajja mu bantu.
Kayihura agamba nti oluvannyuma lwokugobwa era nakwatibwa abantu bangi beyayitanga mikwano gye bamwesamba okuleka abatono ennyo. Yakubiriza abantu obutesinga nnyo bantu bebakola nabo kuba bebasobola okukusuula mu ntata. Yabasabye okukozesa obulungi obuyinza obuba bubaweereddwa. kayihura era yagambye nti akoze n’abantu abalina emitima egyekko bangi okusinga abalungi.
Bino yabyogedde ku lwokutaana mu Ekereziya y’Abakatoliki ey’e Rutare mu kusabira omwoyo gwa Jajja we Ancila Bucyana abadde amanyiddwa ennyo nga Mama Bufumbira e Nyarusiza Sub county mu Disitulikiti ye Kisoro.
Guno gwegwabadde omulindu gwa Gen. Kayihura okukyalako e Kisoro okuva mu 2018 bweyakwatibwa nga yawerekeddwa District Operation Wealth Creation Coordinator Col Deo Tayita namusaba ategeeze bakama be nti emisango egyamuvunaanibwa teyagizza.

youtube abonnenten kaufen

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

27 2 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

5 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

3 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon