Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 227 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Abakwatiddwa kubyokusala waya z’amasanyalaze bavunaaniddwa gwabutujju

July 2, 2025 · Mubiru Ali

Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga ekikwekweto ekyakoleddwa ebitongole byebyokwerinda nga biri wamu ne Uganda Electricity Distribution Company Limited bwebakwatiddemu abantu 17 nga kigambibwa nti bano benyigira mu kwonoona ebikonde ebitambuza amasanyalaze. Bano kuliko; Joseph Ssemanda, Emmanuel Kato, Yasin Mutyaba, nabalala kigambibwa nti wakati w’omwkaa 2022 ne May 2025 mu bitundu bya Kampala n’emiriraano, Luweero, Nakasongola, Mityana, Kiboga ne Mubende benyigira mu kusala waya zamasanyalaze wamu n’ebikondo ekyataagataganya amasanyalaze nga baagala okuteeka Gavumenti ku bunkenke wamu Bannayuganda.
Bano bakyankalanya obuweereza bw’amasanyalaze mu bifo ebyenkizo nga Luweero Industries ne Nakasongola Military Hospital.
#ffemmwemmweffe