Tulina okuvaayo tugambe Museveni amazima – Hon. Muwanga Kivumbi

Omubaka wa Butambala County Muwanga Kivumbi; “Banange tubeere bavumu, oba oli awo Ssegiriinya yandiwangadde okusingawo singa Gavumenti gamba Pulezidenti Museveni yali tatiisizzatiisizza ssiga ddamuzi. Yateekawo embeera eyatiisa abalamuzi okukiriza Ssegiriinya okweyimirirwa ne banne. Tubuulire Museveni amazima. Tubuulire Gavumenti ekituufu nti ekiba kikuweereddwa Ssemateeka tekisobola kuggibwawo nabigambo. Uganda tesobola kuddayo mu biseera bya Idi Amin. Tulina okuvaayo netugamba nti ekimala kimala.”

Leave a Reply