
Abakwatibwa ku gwokulya ebisiyaga 6 e Jinja baddiziddwayo ku alimanda
Abavubuka 6 abakwatibwa ku bigambibwa nti baali benyigira mu kulya ebisiya e Jinja baddiziddwayo ku alimanga. Bano kuliko; Geoffrey Ibanda, Sadic Wassajja, Sadat Menya aka Sheebah, Fabian Kalungi, Hamza Katamba ne Brian Kiiza aka Chosen kigambibwa nti babadde nga bakwata obutambi nga balya ebisiyaga nebabawa ssente.
Bano bakwatibwa ku bigambibwa nti baali basendasenda abavubuka abalala okubegattako okuva ku kyalo Mpumudde ngeno gyebaali bakwatira obutambi buno obwobuseegu wamu nokukola live streams nga balya ebisiyaga nga babiweereza ababawa nga ensimbi.
Bano bakwatibwa ne ssaketi 192 ebizigo ebiseereza, essaati eziriko obubonero bwa LGBTQ n’ebintu ebirala. Omulamuzi w’eddaala erisooka Yafesi Ochieng abawadde amagezi okuddamu okusaba okweyimirirwa lwebanadda nga 17 April.