ABAKULEMBEZE B’E KIBUGA GULU BEGABANYA EZA NABBANJA

Ebiswaza bingi bikyavaayo ku ssente za Ssaabaminisita Rt Hon Robinnah Nabanja, bino bizuuliddwa Akakiiko ka Palamenti aka Gavumenti z’ebitundu aka Local Government Public Accounts Committee. Kitegeerekese nti omu kubafuna ssente zino emitwalo 10 mu Kibuga Gulu yali Gulu City Council Clerk.
Okusinziiira ku alipoota eyakoleddwa eyali ssentebe wa Disitulikiti y’e Gulu Martin Ojara Mapenduzi, eraga nti Clerk yewandiisa ng’omuyimbi okufuna ssente zino.
Kino kyongedde okwoleka nga abakulu mu Disitulikiti, Bannabyabufuzi n’abakozi ba Gavumenti bwebasimuula amannya g’abantu abawejjere okuva ku lukalala bbo nebeteekako.
Akakiiko era kakizudde nti abakozi ba Gavumenti bangi bewandiisa nga abavuzi ba Booda booda nebafuna ensimbi zino.
Waliwo ne Credit Supervisor wa Bbanka emu mu Gulu naye eyewandiisa nafuna ssente zino.
Eyaliko Ssentebe wa LCIII owa Layibi Division, Alfred Oluba naye yewandiisa nga Ddereeva wa Takisi naye nafuna emitwalo 10.
Kyongedde okuzuulibwa nti abakozi ku kitebe ky’ekibuga Gulu 20 wamu nabenganda zaabwe bewandiisa nebafuna ssente zabawejjere.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply