Abakozi ba Gavumenti e Kira bakwatiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force kakutte Kira Municipality Engineer James Joloba ne Division Engineer, Shamie Katongole olwokukola emirimu mu ngeri yagadibe ngalye ku nguudo bbiri okuli Kira -Kiwologoma ne Pine-Shimon nga zamalawo akawumbi 1 n’obukadde 800 nga zino zisangibwa mu Kira, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Bano era bavunaanibwa okukozesa obubi obukadde 85 bwebagamba nti babumalira ku kuddaabiriza obusolya n’okusereka ebibiina bibiri ku ssomero lya Kira Secondary School nebatalongoosa bizimbe nga bwebalina okukola. Bano bakuvunaanibwa emisango okuli; okufiiriza Gavumenti ensimbi, okujingirira embalirira wamu n’okusuulirira emirimu gyabwe.
Share.

Leave A Reply