Abakozi 6 ku Disitulikiti e Maracha bakwatiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit nga kali wamu ne Uganda Police Force kakutte abakozi ba Disituliki y’e Maracha 6 ku bigambibwa nti bakozesa bubi offiisi zaabwe, bafiiriza Gavumenti ssente wamu n’okuwuwuttanya ensimbi. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu West Nile oluvannyuma lw’abatuuze okwekubira enduulu.
Abakwatiddwa kuliko; Osoa Flavia (DEO), Ezati Timothy Maluma(District Engineer), Abiribale Paul (internal Auditor), Avako(Enviromental officer), Candia Stephen(CFO) ne Ezati Robert(clerk). Kigambibwa nti akawumbi akamu n’obukadde 900 ezaweebwayo okuzimba ebizimbe by’essomero lya Kololo Public Sec. School, emirimu egyakolebwa gyali gyagadibe ngalye wabula abakungu ku Disitulikiti nebasigala nga bazza buggya kkontulakita nga tebalondodde mirimu gikolebwa.
Share.

Leave A Reply