Abakakwatibwa COVID-19 mu Yuganda baweze 89

Olunaku lw’eggulo omuntu omulala omu yeyakakasiddwa nti alina ekirwadde kya #COVID-19 okuva mu samples 2729 nga Ddereeva walukululana Munnansi wa Kenya wa myaka 39 nga yayita Malaba ono anoonyezebwa. Zo samples 201 okuva mu mbeerabantu zonna zabadde negative.
Ow’e Rakai ne famire ye bagiddwayo nebatwalibwa mu Ddwaliro e Masaka mu ‘quarantine’, bbo ba Ddereeva ababiri abasangibwa n’ekirwade kino ku lwomukaaga okuli Munnansi wa Kenya n’owa Burundi bazzeeyo munsi zaabwe. Abakakwatibwa obulwadde bwa #COVID19UG bali 89 nga abawonye bali 52.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply