Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 332 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Abaganda terekeraawo okweryamu enkwe – Bobi Wine

February 5, 2022 · Mubiru Ali
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Abaganda okukomya okweryamu enkwe era nawera nga bwatagenda kwetondera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Bobi Wine okwogera bino asinzidde ku Kyalo Jongoz Kaliisizo mu Disitulikiti y’e Kyotera mu kuziika Taata wa Munnakibiina kya NUP Ntege Kyuuma kya Yesu, omugenzi Godfrey Sserwanga Ssabagwiira.
Bobi Wine avumiridde eky’okuwamba Bannakibiina abamu nebatuuka nokuwanganguka nga badduka ekibambulira era nti y’ensonga lwaki Ntege tasobode kuziika kitaawe kuba yawanganguka.
Era azeemu okujjukiza Bannayuganda nti bo bennyini ng’abantu babulijjo bebalina okukyuusa Eggwanga lyabwe lifuuke ekifo ekyeyagaza buli omu.