Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 199 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

ABABAKA SSEWANYANA NE SSEGIRIINYA GYABABASINDISE KU ALIMANDA TEBALIIYO – MUNNAMATEEKA ERIAS LUKWAGO

September 8, 2021 · Mubiru Ali
Bannamateeka b’Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli; Hon. Ssegiriinya Muhammad ne Hon. Allan Ssewanyana nga bakulemberwa Ssaalongo Erias Lukwago baagala ekitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service -UPS kiveeyo kibannyonyole lwaki baavudde ku kiragiro ky’Omulamuzi wa Kkooti ey’e Masaka bweyalagidde abantu baabwe okutwalibwa mu kkomera lyโ€™e Kitalya gye baba babeera ku alimanda ate bbo nebasalawo okubatwala e Kigo.
Bannamateeka baabwe bagamba nti babadde balina okukola ku mpapula zebalina okutwala mu Kkooti Enkulu basabe abantu baabwe okweyimirirwa nga era balina okuzibatwalira basseeko emikono nti wabula kibabuuseeko bwebabadde mu lugendo olwolekera Kitalya nababategeeza nti eno abasibe tebanatwalibwayo.