Ababaka batandise okukuŋŋaanya emikono okujja obwesige mu Gen. Muhwezi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nga bwebatandise okukuŋŋaanya emikono okuwagira ekiteeso kyaboludda oluvuganya Gavumenti okujja obwesige mu Minisita w’obutebenkevu mu Ggwanga Maj. Gen Jim Katugugu Muhwezi ngetabwe evudde ku kutulugunya, okusiba wamu n’okuwamba Bannayuganda ssaako n’okuttibwa ekifamukoko.
Ayongedde nategeeza nti era okukuŋŋaanya obujulizi okuva eri abo abagambibwa okutulugunyizibwa nakwo kutandise nti era ebitabo bino byakuteekebwa ku offiisi z’ababaka mu bitundu byebakiikirira wamu ne ku bitebe by’ebibiina ebivuganya Gavumenti 6 ebirina Ababaka mu Palamenti.
Share.

Leave A Reply