Munnamateeka era omubaka w’ekibuga kye Bugiri, Asuman Basaalirwa (JEEMA) yegasse ku bannnamateeka ba Babaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli; Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates ne Hon. Allan Ssewanyana okuli Hon. Shamim Malende ne Loodi Meeya Erias Lukwago mu Kkooti e Masaka nga baagala okumatiza Kkooti nti ddala Ababaka bano basaanye okweyimirirwa.
Ababaka bano mu kwogerako eri e Kkooti nga bayita ku mutimbagano bagambye nti nabo bandyagadde okuvuganya ku kifo kya Sipiika, Hon. Ssewanyana ayagala abeere Sipiika ate Ssegiriinya abeere omumyuuka singa kirangirirwa nti kikalu. Bano abadiziddwayo ku alimanda baagala okulonda Sipiika kusooke kuyimirire kuba tebasobola kwetabamu so nga ddembe lyabwe.