Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 248 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Aba Opposition bali Kenya

November 19, 2022 · Mubiru Ali

Abakulembeze okuva mu Bibiina ebivugannya Gavumenti ya Yuganda okuli Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Pulezidenti wa Alliance for National Transformation-Uganda Gen. Mugisha Muntu, eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change – FDC Dr. Kizza Besigye, akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, Omumyuuka wa Pulezidenti wa NUP owamambuka Dr Lina Zedriga Waru, Hon Salaam Musumba owa FDC, Hon Winnie Kiiza, omwogezi wa NUP Hon. Joel Ssenyonyi n’omumyukawe Alex Waiswa Mufumbiro n’abalala bali mu kibuga Nairobi ekya Kenya mu lukungaana lwa ‘Uganda Human Rights Accountability’ okutema empenda z’okulwanyisaamu ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu.