Akulira oludda oluwabula Gavumenti era omumyuuka w’omukulembeze wa
National Unity Platform – NUP owa Massekati Hon.
Mathias Mpuuga Nsamba; “Nkikiridde Pulezidenti Kyagulanyi Ssentamu Robert aka
Bobi Wine ku mukolo gwokujjukira munaffe Frank Ssenteza. Kati guweze omwaka Frank eyali omu ku bakuumi b’omukulembeze natomerwa emotoka y’amaggye e Busega mukunoonya akalulu k’obwa Pulezidenti, Frank yafa ng’omuzira eyali alwanirira ensonga eyessimba.
Hon. Kyagulanyi atukubirizza okusigala nga tuli bavumu. Kyeyoleka lwatu nti abatta Frank ne banaffe abalala mu 2018 mu Arua tebavunaanwanga wabula Ababaka Ssegiriinya ne Ssewanya baasibwa ku misango egitategeerekeka ekyoleka eggwanga erifugibwa Pulezidenti Museveni.”
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.