Aba NUP abakwatibwa baziddwa mu Kkooti

Bannakibiina kya National Unity Platform abakwatibwa aba JATT olwaleero bakomezebwawo mu Kkooti y’Omulamuze e Kanyanya okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Ekibiina kya NUP kitegeezezza nga Bannamateeka baakyo bwebakola kyonna ekisoboka okulaba nti bano bayimbulwa ku kakalu ka Kkooti bagende bafune obujanjabi obwetaagisa.
Leave a Reply