Aba booda booda mugira mulindako tulinda Pulezidenti kutuwabula – CP Enanga

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku nsonga ya booda booda okuba nga zikoma ssaawa emu eyakawungeezi; “Abakulembeze b’ebitongole byebyokwerinda batudde nebekkaanya ensonga zokwongezaayo ku budde booda booda kwezirina okukoma okukola nebavaayo nebiragiro ebirina okuteekebwa mu nkola okuteekesa mu nkola ekinaaba kisaliddwawo nebabiweereza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abitunulemu.
Tulindirira kuwabulwa ku biragiro bino n’engeri gyetuyinza okubiteekesa mu nkola. Tukubiriza aba booda booda okusigala nga muli bakakkamu nga bwetulindiirira okuggulawo buli kimu.”
Share.

Leave A Reply