Poliisi ekutte abatema emotoka enzibe e Nansana

Poliisi e Kampala ekutte abavubuka 5 kubigambibwa nti babadde babba emotoka nebazitema nebazitunda mu scrap. Ku bano kuliko Joseph Magoba, Willy Kizza, Gregory Luyinda, Henry Matovu ne Mustafah Kayondo (26) nga bano babadde bapangisa parking mu maka ga Daliya Bembe.

Ekikwekweto ekikuliddwamu SP. Benard Katwalo okuva ku Poliisi e Nansana nga basangiddwa nga batema emotoka ekika kya NOAH nnamba UAR157N.

Mu kifo kino Poliisi yasanzeemu emotoka endala ekika kya Toyota Premio UAK982B nga bamaze okugitema. Eno yabibwa ku Joshua Lubega Babulira nga 29-Aug-2018. Kigambibwa nti eno yabibwa okuva mu makaage ekiro ku ssaawa nga munaana.

Spare w’emotoka awerako omuli emipiira emipya, endabirwamu za Mark II nnamba UAF325K nabyo byazuuliddwa. Poliisi era yagudde ku kifo webabadde bookera ebyo byebalowooza nti tebirina katale omuli wire okwewala okulekawo obujulizi.

Bano bagambye Poliisi nti emotoka eweza kiro 1,000 oba 1500 kibatwalira essaawa 4 zokka okugitemamu spare era nga babitunda wakati w’obukadde 2 – 3.

Bano bagamba nti ekibatemya emotoka zino kwekwala okukwatibwa nga bazeemu okuziguza abantu abalala. Abakwatiddwa bakuumirwa ku Poliisi ye Nansana webanagibwa batwalibwe mu kkooti.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omumyuuka w'omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa.

Omumyuuka w`omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa. ...

68 8 instagram icon
Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3 
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

0 0 instagram icon
Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y'Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y'Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y`Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y`Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
...

26 4 instagram icon
Mukyala w'Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n'maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.

Mukyala w`Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n`maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.
...

4 0 instagram icon

61 1 instagram icon