Ekibiina ekitaba Abasawo mu Ggwanga ekya Uganda Medical Association kivuddeyo nekisambajja ebibadde bitambuzibwa nti kyavuddeyo okulwanirira musawo munaabwe Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, bano bagamba nti ekibiina kyaabwe si kyabyabufuzi era tebalina nteekateeka yonna yakwenyigira mu byabufuzi.
Ebyogerwa nti tutegese okuteeka wansi ebikola okwetoloola Eggwanga lyonna nga twekalakaasa olwa Besigye benoonyeza byabwe. Bino byogeddwa owamawulire Dr. Andrew Mark Muyanga.