BREAKING NEWS
Pulse Uganda: Nameere withdraws support for Among after meeting Museveni MBU: Kampala Shows Up for the Linus Tattoo Party MBU: Eddy Kenzo brokers peace in D Star and Mudra D Viral’s remix dispute Observer: Security raids Among properties over corruption allegations Observer: Masaka Woman MP Justine Nameere arrested by army East News: NAMISINDWA: LC5 Boss Accepts to Hand Over Office East News: ENTEBBE: Court Convicts Notorious Wakiso Land Grabber Pulse Uganda: Nameere arrested hours after swearing-in amid PLU row

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Mukyala Lydia Nandala, omusomesa ku Nabuyonga Primary School mu Disitulikiti y’e Mbale olwaleero agumbye ku ssetendekero wa Kyambogo ngayagala bamubuulire lwaki muwala we yalemeseddwa okukola olupapula lweyaggwa omwaka oguwedde olwamulemesa okutikkirwa.

Muwala we Patience Muyama, asoma Diploma in library and Information Science yalina okuddamu olupapula lweyaggwa mu February 2023 oluvannyuma lwobutatikkirwa mu December 2022, wabula Head of Department, Dr Robina Namuleme yayongezaayo okuddamu olupapula luno okutuusa mu mwezi gwa May 2023 wabula ate kyababuuseeko bwebabategeezezza nti olupapula lwogezeddwayo okutuusa mu November 2023.

 

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza; “Olweggulo lwaleero, Omubeezi wa Minisita ow’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Owek. John Chrysostom Muyingo yayanjudde ekiwandiiko ku ‘masomo agaggwaako’ n’atangaaza nti ebisaanyizo by’abayizi abamaze Ddiguli oba Ddipulooma ku pulogulaamu ezifunye okukkirizibwa nga tebinnabaawo, okusinziira ku mutindo n’ebiragiro ebitandikirwako ebya National Council for Higher Education (NCHE) bituufu. Kino kiŋŋumizza nnyo era namwebaza olw’okunnyonnyola okwo okukulu.
Wabula nsabye Minisita obutakozesa bigambo by’amaanyi kuba birina engeri gyebikosaamu oba olyawo. Mubuuzizza lwaki okozesa ekigambo okuggwako (expiry)?
Muyingo era ategeezezza nti wadde nga beyambisizza ekigambo ‘Expired’ nti course zino ziba tezirina kusuulibwa mu kasasiro oba kuggibwawo nti wabula ebiba bisomesebwa biba byetaaga kuddamu kutunulamu babyekeneenya basobole okubituukanya n’omutindo.”
Sipiika alagidde Minisita Muyingo okuwandiikira NCHE ekyuuse ekigambo ‘Expired’ kyeyatadde ku masomo ago eteekeko ‘programmes under review’.