Ababaka bavuddeyo nebalumiriza Sipiika Anita Among wamu n’omumyuuka we Thomas Tayebwa nga bwebalina kyekubiira ku mabago agaleetebwa Ababaka ku lwabwe, nga nabamu batuuse n’okwebuuza oba nga balina kugenda ewa Among ne Tayebwa babooleze essowaani mu maka gaabwe oba batandika okwera mu mpya zaabwe nga kyekijja okubayamba nabo okubanguyiza ebiteeso byabwe nga bwebakoze ku kya Richard Lumu (Mityana South).
Omubaka Jonathan Odur (Erute South) yebuuzizza mitendera ki eegikozesebwa abakulembeze bano 2 okulondako mabago ki gebaba bateeka ku ‘order paper’ nga balina amabago agasoba mu 19 nga gasooka nerya Lumu.
#ffemmwemmweffe
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.