Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 100 listening Simba FM Live
News

Poliisi ekutte ekibinja ky’abavubuka abagambibwa okumenya amayumba

August 12, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekoze ekikwekweto mu Kampala Metropolitan South nekwata ekibinja kyabavubuka abakozesa ejjambiya okubba nga bano kuliko: 1. Ssekibuule Bakari 25 nga mutuuze we Bunamwaya Ngobe, ngono yakwatiddwa nga 11, August, 2024, e Nateete. Bakari yakirizza okubeera omu ku kibinja ekitigomya Bannakampala era nalonkoma banne okuli: Robert, Boy, Dube, Hakim, ne Muzamir. 2. Kyeyune Robert 21 nga mutuuze w’oku Mwenda, Bulenga, Wakiso yakwatirwa Jjeza ku lw’e Mityana. 3. Ssemanda Kadiidi aka Gideon, 23 mutuuze w’e Bulenga, Wakiso, bamukwatira Bujuuko ngono yasangiddwa n’ensawo ng’ejjudde ebinti ebikozesebwa okumenya ennyumba okuli ne master keys ssaako ekikofiira ekibikka face. 4. Mayanja Hakim 32 omutuuze w’e Bbunga mu Makindye era bwebayazizza ennyumba ye esangibwa e Gogonya B zone, Bulenga A parish, Wakiso ngeno ebadde ekozesebwa nga sitoowa mwebatereka byebabbye, Poliisi yasanzeemu: ejjambiya 4 empya 3 nenkadde 1, black head sock, 2 face masks, akambe akoogi, magalo n’ebintu ebirala ebikozesebwa okumenya amayumba, tooki, ebisumuluzi ebyenjawulo, TV stand 7, 1 PlayStation remote, 2 Airtel SIM cards, obufaananyi 2 obwa Kibirango Derrick 3 ne jaketi y’amaggye 1.