Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 177 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Sipiika alagidde Ssaabaminisita okuvaayo ku kyaba RDC okugaana emikolo gy’ababaka ba Opposition

April 25, 2023 · Mubiru Ali

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bwangu n’ekiwandiiko ku byokuyimiriza emikolo egitegekebwa Ababaka nga kino kikolebwa ba RDC. Kino kidiridde enkwata etali yabuntu wamu n’okutulugunyizibwa kw’omubaka Omukyala Munnakibiina kya National Unity Platform–NUP owa Disitulikiti y’e Buvuma Hon. Susan Mugabi nga kino kyakolebwa abebyokwerinda bweyali ateeseteese omukolo gwolunaku lw’abakyala. Tayebwa ategeezezza nti kati embeera gyetulimu RDC alaga nti alina obuyinza okusinga ne Ssaabaminisita, kuba omumyuuka wa Ssaabaminisiya Hon. Lukia Nakadama yali yakayimiriza ba RDC obutaddamu kulemesa Babaka ba Palamenti kukola mikolo mu bitundu byebakiikirira.