Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 388 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM
News

Poliisi ekutte abasangiddwa n’ebintu byamasanyalaze ebirowoozebwa okubeera ebibbe

June 17, 2025 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga Abasirikale ba Poliisi okuva e Ssemuto Town Council bwebabadde balawuna ku luguudo lwa Ssemuto-Matugga mu zzooni ya Katale nebayimiriza emmotoka nnamba UBL406B ekika kya Ractis ngeno yasangiddwamu waya zamasanyalaze ezirowoozebwa okubeera enzibe, mmita nebirala ebyamasanyalaze.
Poliisi era yasanzeemu meter boxes, solid cables, climbers nebirala. Poliisi era yakutte Kazibwe Farouk 21, ngono Technician era omutuuze wโ€™e Kavule, Gombe, Nansana Municipality, mu Disitulikiti yโ€™e Wakiso.
#ffemmwemmweffe