Omulamuzi sirina kyenalidde – Male Mabiriizi

Munnamateeka Male Mabirizi Kiwanuka olunaku lweggulo omusango ogumuvunaanwa ogwokukozesa olulimi olulengezza tegwagenze mu maaso ku Kkooti ya Buganda Road oluvannyuma lwa Mabiriizi okuvaayo nategeeza nti yabadde talina maanyi gewozaako kuba enjala yabadde emuluma nga tali mu mbeera erowooza.
Ono yategeezezza nti yabadde talina kyeyalidde okuva ku bbalaza bweyagiddwa mu Kkomera e Kitalya natwalibwa mu Luzira Maximum Security Upper Prison gyeyamaze ekiro kiramba nga talidde.
Mabiriizi agamba nti emmere ye nebyokulya bye ebirala byasigadde Kitalya, nga yabadde asasulidde emeere ye yanaku 10 saako ne chapati za 7000. Okuwulira omusango kuddamu leero.

 

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply