OMUBAKA SSENYONYI AKWASIDDWA OFFIISI YA COSASE

Omubaka wa Nakawa West era omwogezi wa National Unity Platform – NUP Hon. Joel Ssenyonyi olunaku olwaleero akwasiddwa offiisi ya Ssentebe w’Akakiiko akalondoole ebitongole bya Gavumenti aka COSASE.
Hon. Ssenyonyi ategeezezza nti okunoonyereza ku bukenuzi n’obuli bw’enguzi mu bitongole bya Gavumenti ssi mmere kulya, nti bamutegeezezza nti kirimu n’emitego.
Emirimu gye agikwasizza Omukama Katonda okumukulembera nga atuukiriza omulimu ggwe nti era mu nkolagana ennungi ne banne bwebali ku Kakiiko bajja kukola omulimu omulungi.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply