Okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag’enjawulo kutandise

Olwa leero enteekateeka y’okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag’enzikiriza ez’enjawulo etandise mu butongole.
Ab’Enzikiriza y’obuyisiraamu okwetoloola e mizikiti egy’enjawulo mu Masaza ga Buganda be bagguddewo enteekateeka eno.
Ku muzikiti e Kibuli, obubaka bwa Katikkiro busomeddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiya, tekinologiya n’enzirukanya y’emirimu, Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo.
Mu bubaka bwe, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, ayozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’okuweza emyaka 70 egy’ekitiibwa. Yebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde Ssaabasajja Kabaka n’ebyo by’amusobozesezza okutuukako.
Asabye abantu ba Buganda bulijjo okusabiranga Kabaka Katonda amuwangaaze, ayongere okutulambika mu bukulembeze Buganda ye yongere okuyitimuka.
Ssaabasajja Kabaka azze atukubiriza okwagalana n’okukuza abaana baffe nga tubaagazisa obuwangwa bwabwe.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply