
Sipiika wa Nakawa Luyombya ayanjulidde ab’e Nakawa byabakoledde
10 — 06
Abayisiraamu e Butambala bakoze dduwa okusabira Katikkiro
10 — 06Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao avuddeyo nategeeza nti emikutu gyamawulire gyasalawo obudde bwonna okubuwaayo okuwandiika ku DP amawulire amabi wabula yo National Unity Platform tebagiwandiikako kibi kyonna. Ono agamba nti emikutu gy’amawulire gikolera NUP; nti bwegiba nga tegikolera NUP lwaki tegiwandiika kububbi bw’obululu obuli ku Kaavule?
Ono agamba olukiiko lwabonna lwatuula ddi olwa NUP? Yebuuzizza nti oba waliwo okulonda kwonna okw’obukulembeze mu Kibiina kya NUP. Mao okwogera bino abadde ayogerako eri Bannamawulire omulundi gwe ogusoose nga yakamala okulondebwa ku kisanja ekyokuna. Mao era asabye aba NUP okusiima DP kuba yabategekera abakulembeze abasinga bebalina.
#ffemmwemmweffe
Webale Kuwuliriza Radio Simba. Tosubwa NAMUDOMOLA! November nga 12