Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw’Ekika ky’Effumbe, kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw’okukizuula nti Yusuf Mbironzankya abadde nsowole. Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwawabwa Katikkiro we Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu Ntege omuva oyo alya obwa Walusimbi. Kkooti ya Kisekwa nga ekulembeddwamu omulamuzi waayo, Joshua Kateregga, esomedde enjuuyi zombi obujulizi obwenjawulo kwesinzidde okuwa ensala yayo nga bwonna bulaga nti Ekika kye Ffumbe kimaze emyaka 1000 nga kitambulira mu bukulembeze obutali butuufu. Oludda oluwanguddwa luweereddwa ennaku 30 okujulira ewa Ssaabasajja Kabaka. Kati kitegeeza nti obukulembeze mu masiga asatu erya Magunda, Nagaya ne Ssempala, bulina okutuula okwerondamu omukulu w’Ekika omutuufu.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.