LWAKI OMYOYO GWA BUGANDA OGUTAFA OGUSEMBEZA ABALALA MUGUTWALA NGA MUNAFU? – KABAKA

Okwogera kwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bufunze; “Twebaza abatwegasseeko okuvumirira obukulembeze obutagoberera mazima namateeka. Tuvumiridde nnyo okusosola Abaana abawala.
Twongere okukuuma ennono nolulimi Oluganda nga tubisomesa abaana baffe.
Ffenna tujjukira nti okuzzaawo obwakabaka mu 1993 twayita mu mitendera omwali okwenyigira obutereevu mu kujjawo obwannakyemalira.
Tubakubiriza obutakoowa okutuusa nga tutuuse ku mazima nobwenkanya.
Tuvumirira nnyo bannaffe abo abaagala okutujja ku mulamwa.
Aboogera ku ttaka lya Mayiro, Lwaki ettaka mu bitundu ebirala bbyo tebyogerwako?
Lwaki omwoyo gwa Buganda ogutafa ogusembeza abalala mugutwala nga omunafu.”
Mukama Katonda Wangaaza Ssaabasajja Kabaka waffe ngalamula Obuganda.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply