Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi ne Bannabyabufuzi abalala ku ludda oluvuganyi Gavumenti bebamu kubagenze mu Kkooti y’Amaggye Makindye Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu ne munne Hajji Obeid Lutale gyebakomezeddwawo okuwulira emisango egibavunaanibwa.
Ssenyonyi avumiridde ekya Kkooti eno obutagoberera mateeka ga Ggwanga abasirikale bwebagaanyi Munnamateeka wa Besigye Eron Kiiza okuyingira ate oluvannyuma nebamukwata nebamuggalira.
Ye eyaliko LOP Winnie Kiiza avuddeyo neyemulugunya eri Ssentebe wa Kkooti nga agamba nti Abebyokwerinda abali mu Kkooti babadde tebalina tag zamannya ku byambalo byabwe.
Bya Christina Nabatanzi