Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 145 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Akena ne Mukyala we Amongi bagiddwa mu nkalala z’abalonzi

September 4, 2025 · Mubiru Ali

Pulezidenti wa Uganda Peoples Congress – UPC Jimmy Akena avuddeyo nategeeza nti erinnya lye ssaako nerya mukyala we Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’Abantu Betty Amongi gakiddwa ku nkalala z’abalonzi.
Amongi yasaba okukyuusa walondera okuva mu Disitulikiti y’e Oyama okudda mu Lira City asobola okuvuganya ku kifo ky’Omubaka omukyala ekirimu Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero. Akena agamba nti alondedde mu Kibuga Lira emirundi ena kati yebuuze engeri erinnya lye gyeryagiddwamu.
Wabula omwogezi w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Paul Bukenya avuddeyo nategeeza nti buno bulimba bwankukunala kuba ebikwata ku bano bombi mwebiri mu nkalala zaabwe.
#ffemmwemmweffe