Kenoheri atwaliddwa mu Kkooti e Nakawa

Kanoheri Jolin, 40, olunaku olwaleero aleeteddwa mu Kkooti y’Omulamuzi wa Nakawa navunaanibwa omusango gwokutta mutabani we ow’emyaka 2 n’ekitundu Nganwa Rugari eyafa nga 2 April.
Kenoheri yakwtibwa Uganda Police Force wiiki ewedde bweyavaayo nategeeza nti omwana yayita mu ddinisa naggwa wansi wabula, bwebekebejja omulambo tegwasangibwako bisago ekyaleetera Poliisi okwongera okunoonyereza. N’omukozi wa waka eyasangibwawo yakwatibwa Poliisi agiyambeko mu kunoonyereza.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply