
Gavumenti ekole enguudo okusobola okutumbula ebyobusuubuzi
17 — 06
Agambibwa okubeera omutujju atiddwa ku Kalerwe
23 — 06Katikkiro w’Ekika kya Nnyonyi-Namungoona Richard Luswata Musajjakaawa, avuddeyo nategeeza nga Ekereziya kyaddaaki bwepondoose nabaddiza ekyapa ky’ettaka ekiriko okusika omuguwa wakati wa Eggye lya Maria erya Legion of Mary wamu n’abennyumba ya namukadde Maria Thereza Nakibuuka 95 eyafa naleka ekiraamo ekikakali nti tebamuziikanga nga Ekereziya Katolika tebawadde kyapa kye kyeyabateresa nti wabula bbo nebakikyuusa okukijja mu mannya gge.
Ab’Ekika basuubirwa okusisinkana ne Brig. Gen. Moses Lukyamuzi okukola enteekateeka z’okuziika Nakibuuka.
Kigambibwa nti Nakibuuka yateresa Nakulabye Catholic Parish ekyapa kye emyaka 10 egiyise bwekyali tekinakyuusibwa okuweebwa Kampala Archdiocese Land Board.
#ffemmwemmweffe